Main Menu

UGANDA: Long long ago….Jokes

Want create site? Find Free WordPress Themes and plugins.

*LONG LONG AGO…!*

🐆Lwaali lumu Wango enjala nemuluma n’afuna ekirowoozo nti kagende alye Wakayima 🍙🐇

Ekibi Wakayima teyaliiwo ng’alina jeyalaze🍙🐅

🐆Wango n’asala amagezi n’ayingira munju neyekweeka munda🍙

🐇Wakayima yali azaawo buza luggi.

 Munnange nga Wakayima akomawo 🍙🐇

Eby’embi enkuba yali yatonnye🌨☔Wakayima ng’alaba ebigere bya Wango wabweru🍙🐾🐇

🐇neyebuuza Wango yayiseewo buyisi oba ali munda ayagala kundya? Wakayima nayiiya🍙🐇

🐇Kye yava ayita nti nju yangee…..? nju yange…? lwaki toyitaba ng’ate twateesa nti Wango bw’aba taliimu oyitabe, bw’aba mwaali toyitaba? …!
🐇Kankuyiteyo omulundi gumu bw’ogaana okuyitaba , nzireyo osanga Wango mwaali….!🍙🐇

Nju yangee….? Nju yange? 🍙Kko Wango nti wanji, awo Wakayima neyeesekera nti hahaha wabula wango oli ffala! Oyagala kundya,  wali olabyeeyo enju eyitaba?😜😜Weeraba Ggwe genda olye ab’ewammwe!🖐🐇🌪Nga amasuka…hahaha haa!  okyakajjukira ako?

 Nange awo wennalabira…..!
 😁😆wali ludda wa? —— AUTO – GENERATED; Published (Halifax Canada Time AST) on: April 23, 2018 at 02:25AM

Did you find apk for android? You can find new Free Android Games and apps.
Sharing is caring: