Main Menu

Trending Uganda has uploaded a new video on YouTube

Want create site? Find Free WordPress Themes and plugins.

Besigye awagidde okugoba Winnie Kiiza || AGOMUMPAPULA
DR. Kiiza Besigye alabudde bammemba ba Palamenti abaggyiddwa mu bifo ne banyiiga ne batuuka ne ku ky’okutandikawo ekibiina ekirala nti, kino kikyamu kubanga ne gye banaagenda wagenda kubaayo okuvuganya nga bwe kiri mu byobufuzi wonna. Yagambye nti abantu bano bwe baba basazeewo okuva mu FDC, eryo ddembe lyabwe kuba naye yatuuka ekiseera nga takyasobola kukolagana na Pulezidenti Museveni n’amuviira. Yabadde ayogera ku nkyukakyuka ezaakoleddwa omukulembeze wa FDC, Patrick Oboi Amuriat, mwe yakyusirizza omukulembeze w’oludda oluvuganya mu palamenti, Winnie Kiiza. Yakiraze nti abantu tebasaanidde kuwakanya nkyukakyuka kubanga ne Pulezidenti Museveni azze azikola noolwekyo tewali tteeka likugira FDC kukola nkyukakyuka bw’eba ekirabye nga kyetaagisa era ye ng’omuntu yazisanyukidde. Dr. Besigye yakiggumizza nti ekisinga obukulu ng’enkyukakyuka nga zino zikolebwa, kugoberera mateeka nti kyokka okusinziira ku kye yalabye, ebyakoleddwa byonna biri mu mateeka. Wabula yagambye nti ekyamwewuunyisizza, okukubaganya ebirowoozo kwokka kwe kussibwa ku ye ng’omuntu atakyalina bukulembeze bwonna mu FDC . Yasoomoozezza abantu bonna abaagala enkyukakyuka nti, baleke okwogera ku buntu obutono omulamwa bagusse ku kuggya Pulezidenti Museveni mu buyinza bw’amazeemu emyaka 35 ng’afuga. Yagambye nti, abantu okuva ku nsonga ennene ne batandika okwogera ku ye ng’omuntu kimwongedde amaanyi okulwanirira enkyukakyuka. For more #AGOMUMPAPULA Click here -https://www.youtube.com/playlist?list=PLuKc12Id0ekgVos5vgaYe1M-OUbMv5DXe 🔥Stay updated! 🔔 Subscribe Now 🔥 https://www.youtube.com/c/trendinguganda 🔥 #Besigye, #TrendingUganda, Cyril #Ramaphosa, #AmamaMbabazi, #Museveni, #CyrilRamaphosa

View on YouTube

—— AUTO – GENERATED; Published (Halifax Canada Time AST) on: August 11, 2018 at 01:55AM

Did you find apk for android? You can find new Free Android Games and apps.
Sharing is caring: