Main Menu

UGANDA: BIZUUSE Ofiisa abadde anoonyereza ku mmundu ezatta Kaweesi bamuwadde but…

Want create site? Find Free WordPress Themes and plugins.

TRENDING UGANDA published on July 14, 2018


EBITONGOLE ebikessi mu ggwanga bitandise okunoonyereza ku lugambibwa okuba olukwe mu kufa kwa ofiisa mu Minisitule y’ensonga z’omunda abadde anoonyereza ku by’emmundu ezikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka.
Wilfred Okello Makmot (CP) ye yabadde akwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okulamba emmundu zonna mu ggwanga, okunoonya emmundu ezaayingizibwa mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka zisaanyizibwewo.

Ono era y’abadde avunaanyizibwa ne ku kulondoola emmundu entono omuli pisito n’emmundu ezitali za maanyi nnyo omuli n’ezitagwa mu ttuluba lya (Assault Rifles) oba SMG omuli ne AK47. Okello yafiiridde ku nnyonyi e Dubai.
Yabadde ava mu Amerika gy’abadde yagenda wiiki ssatu eziyise ku mirimu emitongole. Engeri ey’ekikangabwa gye yafudde yeefaanaanyirizaako n’enfa y’eyaliko omuduumizi w’amagye Gen. Aronda Nyakairima eyafiira ku nnyonyi mu 2015 bwe yali ava e South Korea okudda mu Uganda. Nyakairima yafa nga yaakatuuka e Dubai.

OKUNOONYEREZA KU NFA YA OFIISA

Ensonda mu bitongole ebikuumaddembe zaategeezezza nti abanoonyereza ku buzzi bw’emisango mu bitongole ebyo balina ebibuuzo bingi ku nfa ya Okello.

Ku bibuuzo ebyo, ebitongole bya bambega mu bitongole okuli eky’amagye (CMI) ekiketta munda mu ggwanga (ISO), ekiketta ebweru w’eggwanga (ESO) ekiketta ebweru bakwataganye okulaba bwe banoonyereza ku nfa ya Okello kubanga bateebereza nti mwandibaamu omupango.

Okusinziira ku nsonda mu magye, Makmot abadde ayambako nnyo ebitongole ebyo byonna mu kunoonyereza ku mmundu ezikozesebwa mu butemu. Mu mmundu z’abadde alondoola kuliko ezatta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Kaweesi baamutta bakozesa emmundu kika kya M4 ne Uzi gun, ebika by’emmundu byombi bigwa mu ttuluba lya ‘light weapons’ Okello byabadde avunaanyizibwako era emmundu zino abadde musaale mu kunoonya gye zaava.

Gye buvuddeko, omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola, yalagidde Okello okukulira ttiimu okuddamu okuwandiika emmundu za poliisi zonna, ez’ebitongole by’obwannannyini zonnan’ez’abantu babulijjo zonna.

Kino kyakolebwa oluvannyuma lw’ettemu ly’emmundu eribadde lyeyongera mu ggwanga buli lukya omuli okutta omubaka Ibrahim Abiriga n’abantu abalala abazze battibwa ab’emmundu era nga kuno kuliko; Kaweesi, Muhammad Kiggundu, Joan Kagezi ne Bamaseeka.

Omulimu gw’okuyigga emmundu zino, bwe gwakwasibwa Okello yagutandikirawo era ne mu Amerika gye yabadde agenze yabadde aluubirira kufuna bukugu bwa njawulo mu kunoonyereza ku mmundu zino.

Ensonda mu magye zaategeezezza nti, babuusabuusa nga zaabadde ntuuko za Okello okufiira ku nnyonyi mu kaseera we baabadde basinga okumwetaagira mu kunoonyereza kwe baliko n’ebyo by’abadde yaakazuula. Abamu bateebereza nti biyinza okubaamu obutwa kyokka abalala bagamba nti kyandiba nga Okello yabadde n’ebirwadde naddala ebyekuusa ku mutima nga kye kyavuddeko okufa.

Okello yasimbudde mu kibuga New York ekya Amerika ng’ali bulungi wabula embeera yatabuse ng’ennyonyi eri mu bwengula era n’afa ng’ennyonyi etuuse e Dubai. Ekitebe kya Uganda mu United Arab Emirates kye kyaweerezza obubaka mu Uganda nga bategeeza Minisitule y’ensonga z’omunda ne poliisi nti ofiisa waabwe Okello afudde kikutuko ng’ali ku nnyonyi eyamuggye mu Amerika.
ABADDE ALONDOOLA EMMUNDU ZA KITATTA N’EZATTA KAWEESI Okello ku fayiro ya Kaweesi abadde akola omulimu gw’okuyambako mu kuzuula emmundu ezaamutta oba zaali zaawandiisibwa, bannyinizo abali mu biwandiiko n’omuntu eyali azivunaanyizibwako.

Kigambibwa nti amagye bwe gaakwata emmundu ezigambibwa nti ze zatta Kaweesi, baatuukirira Okelllo okuyambako mu kuzuula ebikwata ku mmundu ezo nti era alina bingi bye yazuula by’abadde ategeka okukwasa ab’amagye ne ISO abali mu kunoonyereza.

Emmundu zino, zaakwatibwa aba ISO okuva mu bifo eby’enjawulo omuli n’amaka g’abamu ku basibe kyokka kyategeezeddwa nti, abasibe emmundu zino bazeegaana ne bategeeza nti tebazirabangako. “Tusuubira nti waliwo omupango ogwakoleddwa mu nfa y’omusajja ono. —— AUTO – GENERATED; Published (Halifax Canada Time AST) on: July 16, 2018 at 05:36PM

Did you find apk for android? You can find new Free Android Games and apps.
Sharing is caring: